1 Kings 4

Abakungu ba Sulemaani

1Kabaka Sulemaani n’aba kabaka wa Isirayiri yonna.

2 aEra bano be baali abakungu be:

Azaliya
Azaliya yali mutabani wa Akimaazi, ate Akimaazi nga mutabani wa Zadooki (2Sa 15:27, 36 ne 1By 6:8-10). Noolwekyo Azaliya muzzukulu wa Zadooki. Mu kiseera ekyo Akimaazi yali amaze okufa. Azaliya ye yali Kabona Asinga Obukulu mu biro bya Sulemaani
muzzukulu wa Zadooki, yali kabona,
3 cErikolefu ne Akiya, batabani ba Sisa, baali bawandiisi,
Yekosafaati mutabani wa Akirudi, yali mujjukiza,
4 dBenaya mutabani wa Yekoyaada, yali muduumizi w’eggye omukulu,
Zadooki ne Abiyasaali baali bakabona,
5Azaliya mutabani wa Nasani, yali mukulu w’abaami,
Zabudi mutabani wa Nasani, yali kabona ate nga ye muwi wa magezi wa kabaka omukulu,
6Akisaali, yali ssabakaaki wa kabaka;
ne Adoniraamu mutabani wa Abuda, yali mukulu w’abaddu.

7Sulemaani yalina abakungu kkumi na babiri abaakuliranga Isirayiri yonna, era baavunaanyizibwanga ebyokulya bya kabaka n’ab’omu nnyumba ye. Buli omu kyamugwaniranga okusolooza ebyokulya okumala omwezi gumu buli mwaka.

8 eEra gano ge mannya gaabwe:

Benikuli, mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu;
9 fBenidekeri, mu Makazi, mu Saalubimu, mu Besusemesi, ne mu Eroni Besukanani;
10 gBenikesedi, mu Alubbosi, Soko n’ensi yonna ey’e Kefera yali yiye;
11 hBeniyabinadabu eyali awasizza Tafasi muwala wa Sulemaani, mu kifo kyonna ekigulumivu eky’e Doli;
12 iBaana mutabani wa Akirudi, mu Taanaki ne Megiddo, ne mu Besuseyani yonna ekiriraanye Zalesani wansi w’e Yezuleeri, okuva ku Besuseyani okutuuka ku Aberumekola okuyita ku Yokumyamu;
13 jBenigeberi, mu Lamosugireyaadi, ebibuga bya Yayiri mutabani wa Manase mu Gireyaadi byali bibye, era n’essaza Alugobu eriri mu Basani n’ebibuga byayo enkaaga ebyalina bbugwe ne wankaaki ow’ekikomo;
14 kAkinadaabu mutabani wa Iddo, mu Makanayimu;
15 lAkimaazi eyali awasizza Basemesi muwala wa Sulemaani, mu Nafutaali,
16 mBaana mutabani wa Kusaayi, mu Aseri ne mu Beyaloosi;
17Yekosafaati mutabani wa Paluwa, mu Isakaali;
18 nSimeeyi mutabani wa Era, mu Benyamini;
19 oGeberi mutabani wa Uli, mu Gireyaadi, ensi ya Sikoni kabaka w’Abamoli, n’ensi ya Ogi kabaka w’e Basani. Ye yali omwami yekka akulira essaza.

20 pAbantu ba Yuda ne Isirayiri baali bangi nga bali ng’omusenyu ku lubalama lw’ennyanja, era baalyanga, ne banywanga nga basanyuka. 21 qSulemaani n’afuga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nsi ey’Abafirisuuti n’okutuuka ku nsalo ey’e Misiri, era baamuleeteranga ebirabo, era ne bamuweerezanga ennaku zonna ez’obulamu bwe
Ensalo z’obwakabaka bwa Sulemaani zaakoma yonna Katonda gye yali asuubizza Ibulayimu (Lub 15:18-21; Ma 1:7; 11:24; Yos 1:4).
.

22Bye baasoloolezanga Sulemaani ebya buli lunaku byali ebigero by’obutta obulungi kilo mukaaga n’obutundu mukaaga, n’ebigero eby’obutta obutaali buse, kilo kumi na ssatu n’obutundu bubiri; 23ente eza ssava kkumi, n’ente ezaavanga mu ddundiro amakumi abiri, wamu n’endiga kikumi, n’enjaza, n’empeewo, n’ennangaazi, n’enkoko ze baalondangamu. 24 sYafuganga ensi yonna eri emitala w’Omugga Fulaati, okuva e Tifusa
Tifusa kyali kibuga kikulu nga kisangibwa ku lubalama lw’Omugga Fulaati, nga kiri ku nsalo ey’omu bukiikakkono bw’obuvanjuba obw’obwakabaka. Gaaza ne Bufirisuuti okumpi n’ennyanja ya Meditereniyaani ye yali ensalo ey’omu bukiikaddyo bw’obuvanjuba obw’obwakabaka.
okutuuka e Gaaza, era yalina emirembe enjuuyi zonna okumwetooloola.
25 uMu mirembe gya Sulemaani, Yuda ne Isirayiri yonna, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba buli muntu yalina emirembe, era ng’alina ennimiro ye ey’emizabbibu n’ey’emitiini.

26 vSulemaani yalina ebisibo by’embalaasi ezisika amagaali enkumi nnya, n’abasajja abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri.

27 wAbaami ba masaza, buli mwezi baalabiriranga Kabaka Sulemaani wamu n’abaatuulanga ku mmeeza ye, nga bamuweereza ebyokulya. 28Era baaleetanga sayiri n’essubi olw’embalaasi ez’embiro n’embalaasi endala, buli muntu ng’omulimu gwe bwe gwali gwe yalagirwa.

Amagezi ga Sulemaani

29 xKatonda n’awa Sulemaani amagezi n’okutegeera kungi nnyo n’obugunjufu bungi, ng’omusenyu oguli ku mabbali g’ennyanja. 30 yAmagezi ga Sulemaani gaali mangi nnyo okukira ag’abasajja bonna ab’ebuvanjuba
Ekitundu eky’Obuvanjuba kitegeeza amawanga g’Abawalabu abaabeeranga mu buvanjuba bwa Bufirisuuti
, ate n’okusinga ago ag’e Misiri.
31 aaYali mugezi okukira abantu bonna, era n’okukira Esani Omwezulaki, ne Kemani, ne Kalukoli ne Daluda batabani ba Makoli, era erinnya lye ne lyatiikirira mu mawanga gonna ageetoolodde. 32 abYagera engero enkumi ssatu, n’ennyimba ze zaali lukumi mu ttaano. 33Yayogera ku bulamu bwe bimera, okuva ku muvule gwa Lebanooni okutuuka ku ezobu amera ku bbugwe. Ate era yayogera ne ku nsolo n’ennyonyi, n’ebyewalula n’ebyennyanja. 34 acEra abantu bangi okuva mu mawanga gonna ne bajjanga okuwuliriza amagezi ga Sulemaani, nga batumiddwa bakabaka okuva mu nsi yonna, abaali bawulidde ku magezi ge.

Copyright information for LugEEEE